James 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo Ebiwandiiko ne bituukirira ebigamba nti: “Yiburayimu yakkiriza Katonda; ekyo ne kimubalirwa ng'obutuukirivu,” n'ayitibwa na mukwano gwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekyogera nti, “Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu;” n'ayitibwa mukwano gwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, era olw'okukkiriza kwe, Katonda n'amukakasa okuba omutuukirivu, era n'amuyita mukwano gwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekyawandiikibwa ne kituukirira ekyogera nti Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu; n'ayitibwa mukwano gwa Katonda.