James 2:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kye kimu era ne Rakabu, malaaya, si bikolwa bye byamuyisa omutuukirivu bwe yayaniriza ababaka ate n'abafulumiza mu kkubo eddala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa eky’okusembeza ababaka, n’oluvannyuma n’abasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne Lakabu omwenzi bw'atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka, n'abayisa mu kkubo eddala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ku Rahabu malaaya si bwe kyali? Teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye ebirungi, kubanga yayaniriza ababaka, n'abayamba okudduka ng'abayisa mu kkubo eddala?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Lakabu omwenzi bw'atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka, n'abayisa mu kubo eddala?