James 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mumala mufa ku oli ayambadde engoye amakula, ne mumugamba nti: “Ggwe tuulira wano,” omwavu ye ne mumugamba nti: “Yimirira eri,” oba nti: “Tuula awo wansi ku muziziko gw'ebigere byange,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby'obuyonjo, ne mwogera nti, “Ggwe tuula wano awalungi,” era ne mugamba omwavu nti, “Ggwe yimirira eri,” oba “Tuula wansi awali ebigere byange;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mwaniriza ayambadde engoye ennungi, ne mumugamba nti: “Ggwe tuula wano awalungi”, ate ne mugamba omwavu nti: “Ggwe yimirira eri”, oba nti: “Tuula wansi, we nteeka ebigere byange”,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby'obuyonjo, ne mwogera nti Ggwe tuula wano awalungi era ne mugamba omwavu nti Ggwe yimirira eri, oba tuula wansi awali akatebe k'ebigere byange;