James 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe omwavu temumussizzaamu kitiibwa. Abagagga si be babanyigiriza? Si be babawalaawala okubatwala mu mbuga?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bennyini ne babatwala awasalirwa emisango?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza mmwe, ne babasikaasikanya okubatwala mu mbuga z'amateeka?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bennyini awasalirwa emisango?