James 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mutuukiriza Etteeka ery'obwakabaka, nga bwe kiri mu Biwandiiko nti: “Oyagalanga munno nga bwe weeyagala,” muba mukoze bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe muba mutuukiriza etteeka lino eriri nga kabaka w'amateeka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka,” mukola bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe mutuukiriza etteeka erisingira ddala amateeka gonna, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini,” muba mukoze bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe muba mutuukiriza etteeka lino eriri nga kabaka w'amateeka, nga bwe kyawandiikibwa nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka, mukola bulungi.