James 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganda bange, omukunyu gubalako oliva, yadde omuzabbibu gubalako entontogolo z'omukunyu? N'amazzi ag'omunnyu bwe gatayinza kuwa mazzi gawooma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutiini guyinza, ab'oluganda, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda bange, omutiini guyinza okubala emizayiti, oba omuzabbibu okubala emitiini? Era bwe kityo n'amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutiini guyinza, baganda bange, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.