James 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye obanga mu mitima gyammwe mukyalinamu obuggya obuka n'omulugube ogw'okwekkusa, muleke kwepanka; muba mulimba amazima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe muba n'obuggya obukambwe, n'okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu mitima gyammwe bwe muba n'obuggya obw'akabi era n'okwefaako mwekka, mulemenga kwewaana n'okulimba nga muwakanya amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe muba n'obuggya obukambwe n'okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima.