James 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awali obuggya n'omulugube gw'okwekkussa, awo wabaawo kutabukatabuka na buli bikolwa omutali nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga awaba obuggya n'okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awaba obuggya n'abantu okwefaako bokka, wabaawo kutabuka era n'ebikolwa ebibi ebya buli ngeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga awaba obuggya n'okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi.