James 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ffenna tusobya mu bingi; oli atasobya mu bigambo, oyo musajja atuukiridde, ayinza n'okufuga omubiri gwe gwonna n'aguwuliza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ffenna tusobya mu bingi. Omuntu yenna bw'atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n'omubiri gwe gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffenna emirundi mingi tusobya. Naye oba nga waliwo omuntu atasobya mu by'ayogera, oyo aba atuukiridde, era asobola okufuga omubiri gwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu bingi tusobya fenna. Omuntu yenna bw'atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n'omubiri gwe gwonna.