James 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabire ku maato; newandibadde nga manene gatya, nga gavugibwa mpewo za maanyi, naye galambikibwa enkasi egoba entono ne gadda omugoba gy'aba ayagadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, era n'emeeri, newakubadde nga nnene bwe zityo, era nga zitwalibwa empewo ez'amaanyi, enkasi entono ennyo ye zigoba yonna yonna omugoba gy'asiima mu kwagala kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amaato nago, newaakubadde manene, enkasi entono ennyo ye egagoba ne gagenda yonna yonna omugoba gy'aba ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, era n’amaato, newakubadde nga manene bwe gatyo, era nga gatwalibwa empewo ez'amaanyi, enkasi entono ennyo ye egagoba yonna yonna omugoba gy'asiima mu kwagala kwe.