James 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olulimi bwe luli. Ku mubiri katundu katono, naye lulina ebinene bingi bye lwetenderamu. Tunuulira akaliro, kenkana wa akookya ekibira ekinene?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, era lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olulimi nalwo bwe lutyo: newaakubadde katundu katono ak'omubiri, naye luyinza okwenyumiririza mu bingi. Lowooza ku kibira ekinene bwe kiyinza okwokebwa akaliro akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n’olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, ne lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo.