James 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olulimi muliro; olulimi nsi nnamba ey'obugwenyufu mu bitundu by'omubiri gwaffe. Luleeta ebbala ebbi ku mubiri gwonna; luteekera omuliro obutonde bwonna; lwo lwennyini Geyenna y'erukoleeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olulimi muliro, ensi ey'obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w'ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olulimi muliro. Lujjudde obubi. Kitundu kya mubiri gwaffe, naye lwonoona omubiri gwonna. Luteekera ebitonde byonna omuliro, nga luguggya mu muliro ogutazikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olulimi muliro: ensi ey'obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w'ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena.