James 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, muleke kwogera bubi ku bannammwe; ayogera obubi ku wooluganda aba amulamula, aba ayogedde bubi ku Tteeka; Etteeka ly'aba alamudde. Bw'oba olamudde Etteeka, oba tokola kye ligamba, wabula oba mulamuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temwogeraganangako bubi, ab'oluganda. Ayogera obubi ku w'oluganda, oba asalira omusango ow'oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango amateeka, naye bw'osalira omusango amateeka, nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w'omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda bange, temwogeraganangako bubi. Ayogera obubi ku muntu munne, oba amusalira omusango, aba ayogedde bubi ku Mateeka, era ng'agasalidde omusango. Bw'osalira Amateeka omusango, oba tokwata Mateeka ago, wabula oba ogasalira musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwogeraganangako bubi, ab'oluganda. Ayogera obubi ku w'oluganda, oba asalira omusango ow'oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango mateeka: naye bw'osalira omusango amateeka, nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w'omusango.