James 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe eno, mmwe mugamba nti: “Leero oba enkya tujja kugenda mu kibuga kino oba kiri, tumaleyo omwaka nga tusuubula, twefunireyo amagoba”;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno mmwe aboogera nti, “Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tulimalayo omwaka gumu, tulitunda, tulifuna amagoba;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kati nno mmwe abagamba nti: “Olwaleero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tumaleyo omwaka gumu nga tusuubula, tufune amagoba”,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno mmwe aboogera nti Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi; tulimalayo omwaka gumu tulitunda tuliviisa amagoba: