James 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
sso nno temumanyi na bya nkya. Obulamu bwammwe kye ki? Anti buli ng'olufu olulabika akabanga obubanga ne luggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye nga temutegeera bya nkya. Obulamu bwammwe buli nga ki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye nga temumanyi biribaawo jjo, mumanyi wadde obulamu bwammwe nga bwe buli? Muli ng'olufu olulabika akaseera akatono ne luggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nga temutegeera bya nkya Obulamu bwammwe buli nga kiki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo: