James 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso mwandigambye nti: “Omukama ng'ayagadde, bwe tunaaba abalamu, tunaakola kino oba kiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwandyogedde nti, “Mukama waffe bw'alyagala, tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwandigambye nti: “Mukama bw'anaayagala, tunaaba balamu, era tunaakola kino oba kiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
we mwandyogeredde nti Mukama waffe bw’alyagala tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti.