James 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati mwetendera mu kwekuluntaza kwammwe. Okwetenda okwo kwonna kubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe, okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano mwekulumbaza, ne mwenyumiriza. Okwenyumiriza okw'engeri eyo kwonna kubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe: okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi.