James 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubaako kye mwegomba ne mutakifuna; ne mutemula ne mukwatibwa ensaalwa naye ne wataba kye mutuukako; olwo ne mulwana, ne mukola entalo. Temulina kubanga temusaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwegomba so temulina, mutta, era mwegomba, so temuyinza kufuna, mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwagala ebintu naye nga temubirina. Mutta abantu, era mwegomba ebintu, sso nga temusobola kubifuna. Muyomba, era ne mulwana. Bye mwetaaga temubifuna, kubanga temubisaba Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwegomba so temulina: mutta, era mwegomba, ao temuyinza kufuna: mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba.