James 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka eneema gy'awa ekirawo. Kyava agamba nti: “Katonda alwanyisa abeekuza, naye abeetoowaze abagirira ekisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana n’ab’amalala naye abawombeefu abawa ekisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti, “Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekisa Katonda ky'akwatirwa abantu, kye kisinga amaanyi. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Katonda alwanyisa abeekulumbaza, kyokka abeetoowaza abakwatirwa ekisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.