James 5:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twesiimisa abo abaaguma. Mwawulira Yobu bwe yaguma, era mwalaba enteekateeka y'Omukama, ng'Omukama bw'ali ow'ekisa, omusaasizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikirizanga, mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw'akola, nga Mukama wa kisa kingi n'okusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaagumiikiriza, tubayita ba mukisa. Mwawulira Yobu bwe yagumiikiriza, era mumanyi Mukama kye yamukolera oluvannyuma, kubanga Mukama wa kisa era musaasizi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikirizanga: mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw'akola nga Mukama wa kisa kingi n'okusaasira.