James 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye okusinga byonna, baganda bange, temulayiranga ggulu oba ensi, oba okulayira mu ngeri endala yonna; wabula bwe mugamba nti: “Yee”, mutegeeze yee, bwe mugamba nti: “Nedda”, mutegeeze nedda, sikulwa nga musalirwa omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okusinga byonna, ab'oluganda, temulayiranga newakubadde eggulu, newakubadde ensi, newakubadde ekirayiro ekirala kyonna, naye ekigambo kyammwe weewaawo kibeerenga weewaawo, n'ekigambo kyammwe si weewaawo kibeerenga si weewaawo; muleme okugwa mu musango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye baganda bange, okusingira ddala, temulayiranga newaakubadde eggulu oba ensi, wadde ekintu ekirala kyonna, naye mugambenga nti: “Weewaawo”, nga mutegeeza nti weewaawo; oba nti “Nedda”, nga mutegeeza nti nedda, muleme kuzza musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okusinga byonna, baganda bange temulayiranga newakubadde eggulu, newakubadde ensi, newakubadde ekirayiro ekirala kyonna naye ekigambo kyammwe weewaawo kibeerenga weewaawo, n'ekigambo kyammwe si weewaawo kibeerenga si weewaawo; muleme okugwa mu musango.