James 5:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mmwe mulimu omulwadde? Atumye abakadde b'Ekleziya; bano bamusabire nga bamusiiga omuzigo mu linnya ly'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? Ayitenga abakadde b'ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mmwe waliwo alwadde? Kale ayite abakulu b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, bamusabire nga bwe bamusiiga n'omuzigo mu linnya lya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? ayitenga abakadde b'ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe: