James 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya yali muntu wa nkula ye emu nga ffe, yeegayirira n'asaba enkuba ereme kutonnya, nayo n'emala emyaka esatu n'emyezi mukaaga nga tetonnya ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriya yali muntu eyakwatibwa byonna nga ffe, n'asaba nnyo enkuba ereme okutonnya; enkuba n'etatonnya ku nsi emyaka esatu n'emyezi mukaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya yali muntu nga ffe. Yasaba nnyo Katonda, enkuba ereme kutonnya ku nsi, era n'etetonnya okumala emyaka esatu n'emyezi mukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriya yali muntu eyakwatibwa byonna nga ffe, n'asaba nnyo enkuba ereme okutonnya; enkuba n'etatonnya ku nsi emyaka esatu n'emyezi mukaaga.