James 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zaabu wammwe ne ffeeza bitalazze; obutalagge obwo bwe bulibalumiriza; bulirya emibiri gyammwe. Mweterekedde omuliro mu nnaku ez'oluvannyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezaabu yammwe ne ffeeza zitalazze; n'obutalagge bwazo buliba mujulirwa gye muli, bulirya omubiri gwammwe ng'omuliro. Mwakuŋŋaanyiza ebintu mu nnaku ez'enkomerero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaabu wammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge obwo bwe bulibalumiriza, ne bulya emibiri gyammwe, ng'omuliro bwe gulya. Mukuŋŋaanyizza obugagga, ng'enkomerero y'ensi eri kumpi okutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezaabu yammwe ne ffeeza zitalazze; n'obutalagge bwazo buliba mujulirwa gye muli, bulirya omubiri gwammwe ng'omuliro. Mwakuŋŋaanyiza ebintu mu nnaku ez'enkomerero.