James 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe, empeera y'abapakasi abaalima ennimiro zammwe gye mwesigaliza, ereekaana; omulanga gw'abaabalimira gutuuse mu matu g'Omukama w'Amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, empeera y'abakozi abaakungula ennimiro zammwe, gye mulyazaamaanya, ekaaba, n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama Ow'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empeera y'abakozi abaakola mu nnimiro zammwe, gye mwalyazaamaanya, yiino ereekaana, era omulanga gw'abo abaakola, gutuuse mu matu ga Mukama Omuyinzawaabyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, empeera y'abakozi abaakungula ennimiro zammwe, gye mulyazaamaanya, ekaaba: n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama Ow'eggye.