James 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwasalidde omutuukirivu omusango, ne mumutta; tabalwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwasala omusango okusinga omutuukirivu, ne mumutta; naye n'atabawakanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwasala omusango okusinga oyo atagulina, ne mumutta nga tabalwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwasala omusango okusinga omutuukirivu, ne mumutta; naye tabawakanya.