James 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, abooluganda, mugumiikirize okutuusa Omukama lw'alijja. Mulabe, omulimi agumiikiriza n'alindirira ebibala by'ettaka eby'omuwendo okutuusa lw'abifuna mu mwaka ogusooka oba ogusembayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, ab'oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby'ensi eby'omuwendo omungi, abigumiikiriza, okutuusa enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno baganda bange, mugumiikirizenga okutuusa Mukama lw'alijja. N'omulimi bw'atyo bw'akola: alindirira ennimiro ye okumubalira ebibala eby'omugaso, ng'agumiikiriza okutuusa lw'alifuna enkuba esooka era n'eyo ejja oluvannyuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, ab'oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby'ensi eby'omuwendo omungi, abigumiikiriza, okutuusa enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo.