Jeremiah 1:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ky'Omukama kyajja gye ndi, nga kigamba nti: “Yeremiya, olaba ki?” Nze ne nziramu nti: “Ndaba omuti ogw'endoozi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?” Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti, “Ndaba omuggo ogw'omulozi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'ambuuza nti: “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba ettabi ly'omuti gw'ebinyeebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti Yeremiya, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba omuggo ogw'omulozi.