Jeremiah 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ky'Omukama ne kijja gye ndi omulundi ogwokubiri, ne kigamba nti: “Olaba ki?” Ne ŋŋamba nti: “Ndaba entamu etokota ng'ebunduse okuva emambuka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?” Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama naayogera nange omulundi ogwokubiri n'aŋŋamba nti, “Olaba ki?” Ne nziramu nti, “Ndaba entamu eyeesera; ng'etunudde e bukiikakkono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba omulundi ogwokubiri nti: “Kiki ekirala ky'olaba?” Ne nziramu nti: “Ndaba entamu mu bukiikakkono, eyeesera nga yeewunzikidde eno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira omulundi ogw'okubiri nga kyogera nti Olaba ki? Ne njogera nti Ndaba entamu eyeesera; n'amaaso gaayo gayima obukiika obwa kkono.