Jeremiah 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'aŋŋamba nti: “Okuva emambuka akabi kanaabundulwa ku bonna abali mu nsi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Okusinziira obukiikakkono obubi bulifubutuka, okutuuka ku bantu bonna abali mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Akabi kalifuluma mu bukiikakkono okutuuka ku bantu bonna abali mu ggwanga lino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti Okuyima obukiika obwa kkono obubi bulifubutukira ku bonna abali mu nsi.