Jeremiah 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ŋŋenda kukunga obwakabaka bwonna obw'emambuka,” Omukama bw'agamba, “balijja ne basimba buli omu nnamulondo ye ku mizigo gy'emiryango gya Yeruzaalemu; okwebungulula bbugwe we yenna na buli kibuga kya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda. Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi, balizinda bbugwe waakyo yenna era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, ndiyita ebika byonna eby'amatwale ga bakabaka ab'omu bukiikakkono, bw'ayogera Mukama; era balijja ne basimba buli muntu entebe ye awayingirirwa mu miryango gya Yerusaalemi n'okwolekera bbugwe waayo yenna enjuyi zonna n'okwolekera ebibuga byonna ebya Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiyita amawanga gonna ag'omu bwakabaka obw'omu bukiikakkono. Bakabaka baayo balijja ne bateeka entebe zaabwe ku miryango gya Yerusaalemu, n'okwetooloola ebisenge byakyo, n'okwetooloola ebibuga ebirala ebya Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, ndiyita ebika byonna eby'amatwale ga bakabaka b'obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama; era balijja ne basimba buli muntu entebe ye awayingirirwa mu miryango gya Yerusaalemi n'okwolekera bbugwe waayo yenna enjuyi zonna n'okwolekera ebibuga byonna ebya Yuda.