Jeremiah 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwatula ensala yange ku bo olw'okusobya kwabwe kwonna, bwe banjabulira ne banyookeza balubaale obubaani, ne basinza emikono gyabwe bye gyakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna, kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala, era ne basinza ebibajje bye beekolera n’emikono gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndyatula emisango gyange gyebali, olw'obubi bwabwe bwonna; kubanga bandese ne booteza obubaane eri bakatonda abalala, ne basinza ebyo bye baakola n'engalo zaabwe bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisalira abantu bange omusango okubasinga olw'ebibi byabwe, kubanga bandeseewo ne bootereza balubaale obubaane, era ne basinza ebyo bo bennyini bye baakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndyatula emisango gyange eri bo olw'obubi bwabwe bwonna; kubanga bandese ne booteza obubaane eri bakatonda abalala, ne basinza emirimu egy'engalo zaabwe bo.