Jeremiah 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe nno weekindikire, situka, bagambe byonna bye nkulagira. Tebakutekemula, oba si ekyo ndikutekemula mu maaso gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno weesibe ekimyu oyimuke obagambe byonna bye nkulagira; tokeŋŋentererwanga gyebali, nange nneme okukukeŋŋenterererwa mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ggwe, situka weesibe ekimyu, obategeeze byonna bye nkulagira okwogera. Baleme kukutiisa, sikulwa nga Nze nkutiisa mu maaso gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno weesibe ekimyu oyimuke obagambe byonna bye nkulagira: tokeŋŋentererwanga eri bo, nneme okukukeŋŋenterera mu maaso gaabwe.