Jeremiah 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwa leero nkufudde kibuga ekiriko bbugwe, empagi ey'ekyuma, ekigo eky'ekikomo, owakanye ensi yonna, bakabaka ba Yuda, abakungu baamu, bakabona baayo n'abantu bonna mu ggwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, nkufudde leero ekibuga ekiriko enkomera, era empagi ey'ekyuma, era bbugwe ow'ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakulu baayo, eri bakabona baayo, n'eri abantu bonna ab'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwaleero nkufudde ekibuga ekinywevu, empagi ey'ekyuma, era ekisenge eky'ekikomo, okulwanyisa ensi Buyudaaya yonna: bakabaka baayo, abakungu ne bakabona baayo, n'abantu baayo bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, nkufudde leero ekibuga ekiriko enkomera, era empagi ey'ekyuma, era bbugwe ow'ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakulu baayo, eri bakabona baayo, n'eri abantu ab'omu nsi.