Jeremiah 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajja kukulwanyisa, naye tebagenda kukusobola, kubanga nze ndi naawe okukutaasa.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balirwana naawe; naye tebalikuwangula, kubanga nze ndi wamu naawe, okukuwonya,” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balikulwanyisa, naye tebalikuwangula, kubanga Nze ndi wamu naawe. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukuwonya.