Jeremiah 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ky'Omukama kyajja gy'ali mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogw'obwakabaka bwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyajjirwa ekigambo kya Mukama mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ogw'okufuga kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yayogera ne Yeremiya, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu nga Yosiya mutabani wa Ammoni ye kabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyajjirwa ekigambo kya Mukama mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogw'okufuga kwe.