Jeremiah 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era ne mu mirembe gya Yoyakimu, mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano ogw'omwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Zedekiya mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, ab'e Yeruzaalemu lwe baagenda mu buwaŋŋanguse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kyajja ne mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, n'okutuusa ku nkomerero y'omwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, n'okutuusiza ddala ab'e Yerusaalemi lwe baatwalibwa nga basibe mu mwezi ogw'okutaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era yayogera naye nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka. N'oluvannyuma Mukama yayogera naye emirundi mingi, okutuusa mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, ogw'obufuzi bwa Ssekabaka Zeddeekiya mutabani wa Yosiya. Mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogwo, abantu b'omu Yerusaalemu mwe baatwalirwa mu buwaŋŋanguse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kyajjira ne mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa ku nkomerero y'omwaka ogw'ekkumi na gumu ogwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda: okutuusa ab'e Yerusaalemi lwe baatwalibwa nga basibe mu mwezi ogw'okutaano.