Jeremiah 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nali sinnakukola mu lubuto lwa nnyoko, nga nkumanyi; wali tonnaba na kuzaalibwa, ne nkutukuza, ne nkulonda obeere mulanzi eri amawanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo; nga tonnava mu lubuto n’akutukuza. Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nnakutukuza; era nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nakulonda nga sinnakubumba mu lubuto lwa nnyoko. Era nakutukuza nga tonnazaalibwa, ne nkuteekawo okuba omulanzi eri amawanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nakutukuza; nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga.