Jeremiah 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Yii, Mukama Katonda, nga simanyi kwogera, nkyali mwana bwana!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nze ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! Laba, siyinza kwogera, kubanga ndi mwana muto.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nze ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, simanyi kwogera, ndi mwana muto.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nze ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.