Jeremiah 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: “Leka kugamba nti: ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga buli bantu gye nnaakutuma, ojja kugendayo, na byonna bye nnaakulagira, ojja kubyogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama n'aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana muto;’ kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy'onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky'onooyogeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama n'aŋŋamba nti: “Togamba nti oli mwana muto. Naye genda eri abo gye nkutuma, era obategeeze byonna bye nkulagira okwogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama n'aŋŋamba nti Toyogera nti Ndi mwana muto: kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy'onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky'onooyogeranga.