Jeremiah 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'agolola omukono gwe n'akwata ku kamwa kange; Omukama n'angamba nti: “Kati nkutadde ebigambo byange mu kamwa ko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'agolola omukono gwe n'akwata ku kamwa kange; Mukama n'aŋŋamba nti, “Laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agolola omukono gwe, n'akwata ku mimwa gyange, n'aŋŋamba nti: “Kaakano ntadde ebigambo byange mu kamwa ko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'agolola omukono gwe n'akoma ku kamwa kange; Mukama n'aŋŋamba nti Laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko: