Jeremiah 10:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno kino ky'oba obagamba nti: ‘Balubaale abataakola ggulu na nsi baliggwaawo ku nsi ne wansi w'eggulu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe muti bwe muba mubagamba nti, “Bakatonda abataakola ggulu na nsi, abo balibula era balizikirizibwa okuva mu nsi n'okuva wansi w'eggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubategeeze nti balubaale abataakola ggulu na nsi, balizikirizibwa ne baggweerawo ddala mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe muti bwe muba mubaganba nti Bakatonda abatakola ggulu na nsi, abo balibula mu nsi n'okuva wansi w'eggulu.