Jeremiah 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye yakola enkulungo y'ensi n'amaanyi ge; yabangawo ensi n'amagezi ge; n'okutegeera kwe n'abamba olubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yakola ensi n’amaanyi ge, n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge, era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye w'obuyinza, ye yatonda ensi. Amagezi ge, ge gaatereeza ebintu byonna era ge gaabamba eggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe: