Jeremiah 10:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'abwatuka, amazzi ku ggulu ne gayira; alinnyisa ebire okuva ku nkingi z'ensi; akola eraddu okuwa enkuba, era y'aggyayo empewo mu mawanika ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma, asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi. Amyansisa eggulu mu nkuba, era n’aggya empewo mu mawanika ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'aleeta eddoboozi lye, ne waba oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa olufu okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye bw'alagira, amazzi agali waggulu gawuluguma, era asitula ebire okuva mu nsonda z'ensi. Aleeta okumyansa mu nkuba, era aggya embuyaga mu mawanika ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'aleeta eddooozi lye, ne waba oluyoogaano alw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge.