Jeremiah 10:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muntu mubuyabuya, talina ky'amanyi; buli musaanuusa wa zaabu aswala olw'ekifaananyi kye. Ebifaananyi bye ebisaanuuse ebya balubaale bulimba busa, mu byo temuli mukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera; buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze. Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba, era tebiriimu bulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ensonyi zimukwata olw'ekifaananyi kye ekyole; kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so temuli mukka mu byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna basiruwadde, baweddemu amagezi. Abakola ebifaananyi ebya zaabu ensonyi zibakutte, kubanga ebifaananyi byabwe bya bulimba, temuli bulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ensonyi zimukwata olw'ekifaananyi kye ekyole: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so temuli mukka mu byo.