Jeremiah 10:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oyo Omugabo gwa Yakobo tafaanana ebyo, kubanga ye yakola byonna omuli ne Yisirayeli, ekika ky'obusika bwe, Omukama w'Amagye lye linnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo, ye Mutonzi w’ebintu byonna, era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutafaanana ebyo ye gwe mugabo gwa Yakobo; kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe, Mukama w'eggye lye linnya lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda wa Yakobo tali nga byo, kubanga ye yatonda byonna; era yalondamu Yisirayeli okuba eggwanga erirye ku bubwe. Mukama Nnannyinimagye lye linnya lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo; kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe: Mukama w'eggye lye linnya lye.