Jeremiah 10:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama kino ky'agamba: “Ku luno abasula mu nsi ŋŋenda kubavuumuula, mbalabise ennaku, basobole okunsanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba nfuumuula abantu mbaggye mu nsi eno, era ndibaleetako ennaku balyoke bawambibwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Laba, ndivuumuula abatuula mu nsi, ne mbaggyamu mu biro bino, era ndireeta okunyolwa kubo balyoke bakuwulire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama agamba nti: “Mu kiseera kino, nja kugoba abantu mu nsi eno. Nja kubatuusaako obuyinike baboneebone.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw’ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndivuumuula abatuula mu nsi okubaggyamu mu biro bino, era ndibasaasaanya, balumibwe.