Jeremiah 10:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zinsanze nze olw'ekiwundu kyange! Obuvune bwange tebuwona! Naye nze ŋŋamba nti: “Kituufu, buno bwe buyongobevu bwange; ka mbugumire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange ekinnuma ennyo. Naye ate ne ŋŋamba nti, “Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zinsanze olw'ekiwundu kyange! Ekiwundu kyange kinnuma nnyo, naye ne njogera nti, “Mazima buno bwe buyinike bwange, era kiŋŋwanira okubugumiikiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga zitusanze okufumitibwa ebiwundu! Ebiwundu byaffe si bya kuwona! Naye tunaagamba ki? Buno bwe buyinike bwaffe, tuteekwa okubugumira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zinsanze olw'ekiwundu kyange! ekiwundu kyange kinnuma nnyo: naye ne njogera nti Mazima buno bwe buyinike bwange, era kiŋŋwanira okubugumiikiriza.