Jeremiah 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Muleke kuyiga makubo g'ab'amawanga, temutiisibwa bubonero bwa ggulu newandibadde nga bo ab'amawanga bubatekemula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Temugobereranga makubo g’amawanga oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu, kubanga amawanga ge byeraliikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Temuyiganga mpisa za mawanga malala, so temweraliikiriranga bubonero bwa ku ggulu; kubanga amawanga gabweraliikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agamba nti: “Temuyiganga mpisa za ba mawanga malala. Temweraliikiriranga bubonero obutali bwa bulijjo, obulabikira ku ggulu, ab'amawanga amalala ne bwe babweraliikirira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuyiganga kkubo lya mawanga, so temweraliikiriranga bubonero bwa mu ggulu; kubanga amawanga gabweraliikirira.