Jeremiah 10:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weema yange bagyayizza, emiguwa gyayo gyonna bagikutudde. Batabani bange bandeseewo, tebakyaliwo. Tewakyali asigadde kusitula weema yange, n'okusimba ensiisira yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eweema yange eyonooneddwa, era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali. Tewali n’omu asigaddewo kaakano kuzimba weema yange wadde okuzimba ekigango kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eweema yange ezikiriziddwa, n'emigwa gyange gyonna gikutuse; abaana bange banvuddemu, so tebaliiwo; tewakyali wa kubamba weema yange, newakubadde ow'okussaawo entiimbe zange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eweema zaffe zoonooneddwa, emiguwa egizireega gikutuse. Abaana baffe batuvuddeko, tewali anaatuleegera weema, n'okuwanika entimbe mu zo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eweema yange enyagiddwa, n'emigwa gyange gyonna gikutuse: abaana bange banvuddemu, so tebaliiwo: tewakyali wa kubamba weema yange, newakubadde ow'okusimba amagigi gange.